Akulira enzikiriza y’obuwangwa n’ennono Ssabakabona Jumba Lubowa Aligaweesa avumiridde obufere obweyongedde ennyo mubasawo be kinnansi era n’alabula n’abo’abasawo be kinnansi ebeganzika ku balwadde abagenda mumasabo gabwe, nti yenna anakwatibwako ng’ali munzikiriza eno, ebbaluwa ye yakusazibwamu n’okuvunana avunanwe nga ssemateeka wa uganda n’enzikiriza bwe bigamba.
Agamba nti kikyaamu nnyo omusawo okuganza omulwadde abeera addukidde mu ssabo lye okusobola okufuna okuyambibwa mungeri yonna, kyokka ate abamu ne babakaka omukwano nga befudde ababambulula ebisiraani bye babeera balina. ‘’Abalwadde baffe tubalabula nti ssinga omusawo yenna agezako okukukaka omukwano, genda omuloope ku poliisi, kuba abeera ayinza n’okukusiiga ekirwadde’’ bwatyo Ssabakabona Jjumba bwe yategezezza.
Jjumba okwogera bino abadde ku mukolo gw’okujaguza okuweza emyaaka enna(4) kuntebe nga Ssabakabona w’enzikiriza y’obuwanga n’enono, ng’omukolo gw’abadde ku kitebe ky’enzikiriza eno ku kyaalo Kirowooza mu disitulikiti ye Mukono era ku mukolo guno bangi batikiddwa ekitiibwa ky’obwa kabona.
Ono yagambye nti kino kye kiseera pulezidenti museveni okukangula ku ddoboozi ate n’okutereeza ebitongole ebikuuma ddembe, kuba emmundu zisusse nnyo mubantu babulijjo, era kye kiviriddeko n’ettemu okweyongera ennyo mu gwanga, ekintu ekitadde eggwanga kubunkenke.
Jjumba yasabye pulezidenti museveni okuyimbula abantu bonna abakwatibwa ne basibirwa mu kkomera lye kitalya olw’ebyobufuzi, n’amujjukiza nti bwe yali alayira yategeeza ng’ebyobufuzi bwe biwedde, n’olwekyo tumusaba n’abasibwa olw’ebyobufuzi bonna okuyimbulwa.
Yalaze abagoberezi be ebyo by’asobodde okukola okuva lwe yatuuzibwa, omuli okuwandiisa enzikiriza eno n’okukola ssemateeka kw’etambulira, okufulumya ekitabo ekitukuvu enzikiriza mw’eyita okutendereza nga kati bategeka kuzimba ssinzizzo gaggadde mu Kampala.