21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abasawo b’ebyalo baweereddwa obugaali okubayambako mu byentambula.

Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Diana Atwine yeekokkodde obucaafu obusukkiridde mu maka ekivuddeko abantu bangi okulwala endwadde.

Dr Atwine asinzidde ku Mbuga y’essaza Buddu mu Kibuga Masaka mu kukwasa abasawo ku byalo bayite na VHTs ppikippiki n’obugaali bibayambeko okutambuza emirimu wansi ku byalo wakati mu kukwasizaako minisitule y’eby’obulamu.

Ppikippiki zino zaaweereddwaayo ekitongole kya Korea Foundation for International Healthcare ( KOFIH).

Dr Atwine ategeezezza nti obucaafu bucaase nnyo ensangi zino nga weesanga nga amaka mangi tegalina kaabuyonjo naakuutira abakulembeze okukubiriza abantu okuba abayonjo.

Dr Atwine era asinzidde wano n’akubiriza abasawo ku byalo okukozesa entambula ezibaweereddwa ne yeebaza aba Korea olw’okubalowoozaako nga bannayuganda.

Dr Richard Kabanda kamiisona okuva mu minisitule y’ebyobulamu asabye abasawo ku byalo okutandika okulondoola endwadde nga sukaali, puleesa, mu bantu naddala abakuze mu myaka okusobola okwettanira obujjanjabi mu malwaliro nga ye ngeri yokka ey’okukendeeza omuwendo gw’abantu abafa endwadde zino.

Kim Biungi, akulira ekitongole kya KOFIH mu UGANDA ategeezezza nga enteekateeka y’okusaasaanya ebyobulamu mu masekkati ga Uganda bwe yatandika mu 2021 ng’enteekateeka eno ey’okubunyisa ppikippiki n’obugaali yaakumala ebbanga lya myaka 5.

Akulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Masaka, Dr. Faith Nakiyimba ategeezezza nga minisitule y’ebyobulamu bw’ebasoosawazza ennyo mu nga kati essira liri mu kutangira ndwadde n’agamba nti baakulaba nga enteekateeka eno etambula bulungi.

Abasawo ku byalo nga bakulembeddwa Claudia Nandaula balaze okusoomoozebwa kwe babadde basanga omuli okutindigga eng’endo empaavu okutuuka ku balwadde kyokka ne beebaza KOFIH okubawa entambula.

Pikipiki eziweereddwayo zibadde 30 nga obugaali bubadde 200 ssaako ne Kits 484 ezirimu ebyeyambisibwa mu by’obulamu nga biweereddwa abasawo ku byalo okubayambako mu kutambuza emirimu nga disitulikiti okuli Bukomansimbi, disitulikiti y’e Masaka ssaako n’ekibuga Masaka be baganyuddwa mu nteekateeka eno.

Related posts

Poliisi erangiridde ebikwekweto ku ba booda booda abavugisa ekimama.

OUR REPORTER

Omusango g’omugagga Onobe okutta mukazi we gwongezeddwaayo.

OUR REPORTER

POLIISI EREMESEZZA ABAYIZI BA IUIU ABABADDE BATEGEKA OKWEKALAKAASA

OUR REPORTER

Leave a Comment