Poliisi eggalidde abaserikale baayo abagambibwa okwekobaana n’omujaasi wa UPDF ne baluka olukwe mwe babbidde obukadde 137.
Abaakwatiddwa ye AIP Robert Byaruhanga ne pc Ali Koko nga kigambibwa nti babadde mu kobaane mwe baanygidde ssente obukade 137 ezaabadde zitambuzibwa mu mmotoka.
Omwogezi wa poliisi mu kampalam n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti nga April 28, 2023 abakozin ba kkampuni ya Narin Venteures Ltd okuli Simon Olupot ne Aggrey Agaba mu baagenda nga bakungaanya ssente mu bakasitoma ba kkampuni naddala aba Mobile money era ne bakunganya obukadde 137 nga baatandika ssawa 4:00 ku makya ku Arua park.

Yategeezezza nti abaserikale bano n’abasajja bano baggye ssente ku Olupo ne Agaba oluvanyuma Agaba ne bamuyingiza mmotoka nnamba UAU 719H kyokka Olupot n’addukka.
Yagambye nti okukwata abaserikale bano abakuumirwa ku poliisi y’oku kitebe ky’eggaali y’omukka kyaddiridde okwetegereza ebifaananyi ebyakwatiddwa kkamera z’oku nguudo ebyalaze omupango gw’okubba ssente bwe gwabadde era mmotoka n’ekwatibwa mwe baayingizza Agaba.
Yagambye nti poliisi era enoonys abasajja abaabadde mu ngoye ezaabulujjo n’omujaasi wa UPDF ali ku ddala lya Lutenanti nabo bavunaanibwe nga okunnoonya n’okuzuula ssente ezabbiddwa kugenda mu maaso.
Poliisi yaggudde fayiro namba SD 29/28/04/2023 enoonyerezebwako poliisi ya CPS mu Kampala.