22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abasiraamu basabiddwa okukolagana ne bannaabwe ab’enzikiriza endala.

ABASIRAAMU  balabuddwa bulijjo okukolagana ne bannaabwe newankubadde nga baawukana mu nzikikiriza z’eddiini.

Bino byogeddwa ddayirekita wa Sharia Sheikh Dr. Abudul Hafiz Walusimbi bwe yategeezezza nti Abasiraamu basaanye bakimanye nti balina okukolagana obulungi ne bannaabwe kibayambeko okuwangaalira mu nsi nga bali mu

Ategeezezza nti Obusiraamu busomesa kukolagana bulungi ne bantu bannaffe ne bwebataba Basiraamu kubanga nabo babeera batuvunaanyizibwako butereevu.

Sheikh Walusimbi agamba nti enkolagana  eno nkulu nnyo nga okusookera ddala esooka n’ekigambo ‘’obuntu’’ ekitegeeza nti fenna tuli bantu nga na bwe kityo tulina okukolagana obulungi.

Awadde ekyokulabirako ekya Allah (A.W) mu kitabo ekitukuvu ekya kkulaani yayita abantu emirundi 20 nga tasosodde mu nzikiriza yonna nti ‘’Abange mmwe abantu’’ . Nga kino kitegeeza nti fenna Allah atumanyi era tulina okukolagana.

 Kino kitegeeza nti abantu bonna Katonda yeyabatonda era abamanyi naye eky’enjawulo kiri kimu ngeri ggwe gy’osembereramu Katonda wo. Kyokka era Allah yagamba mu Kulaani nti ‘’Abange mmwe abantu Mujja kuba n’ebibinja byammwe.’’ Nga kino kitegeeza nti Allah abantu bonna abamanyi.

Sheikh Walusimbi asabye abantu naddala Abasiraamu okumanya nti buli lwe bannyikiza enkolagana yaabwe ne bantu bannaabwe babeera basanyusa Allah kubanga ekyo ky’asinga okwagala.

Related posts

FORTEBET SAYS THANK-YOU TO HOIMA, KIBOGA, MASINDI IN A STYLISH WAY

OUR REPORTER

Ahmed Lwasa akubiriza abazadde okwongera okunnyikiza ebyenjigriza mu baana.

OUR REPORTER

Katikkiro Mayiga akuutidde abavubuka okubeera abayiiya .

OUR REPORTER

Leave a Comment