23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
Amawulire

ABASIRAAMU BE KUMI BAGOBYE DISTRICT KAZHI LWA NSIMBI ZA UNRA NE BIGAMBIBWA OKUTUNDA ETTAKA LY`OMUZIKITI

Abasiraamu mu district ye Kumi bavudde mu mbeera ne banaabira district kazhi sheikh Abdul Wahab Kawuta mu maaso ne bagattako okumulumiriza nga bwavuluze ensonga zo Busiraamu nga kwotadde n`okusibisa abamuwakanya mu makomera ne babassaako ebisango , era bamulumiriza abamu okubakolako alipoota nabawaayiriza mu beby`okwerinda nga bwe bali aba ADF era abasinga  bakyaali mu makomera, Abasiraamu bekalakaasizza ne bawanika ebipande era kyebasookerako kwe kuggala ofiisi ya sheikh Kawuta.

Sheikh Abdul Wahab Kawuta abasiraamu gwe bagobye ku bwa district Kazhi bwe kumi

Mu lukiiko lwa ba sheikh ne ba Imaam abava mu distict ye Kumi nga eno etwaala district okuli Ngora, Bukedea ne Kumi yennyini nga olukiiko lwatuusiddwa ku ssomera lya Kumi Township PS  nga lwakubiriddwa ne ssentebe wa district Emokorait Abudallah, nga luno lwajje obwesige n`okulangilira nga sheikh Kawuta takyaali district kazhi we Kumi. Bagamba bawandiikidde mufti sheikh Shaban Mubajje okuyingira mu nsonga ze Kumi, naye kati emyaaka 5 talinnyangako Kumi kulamula Busiraamu.

Mu nsonga endala ze balumiriza sheikh Kawuta mulimu okubulankanya ensimbi UNRA ze yalina okusasula essomero lya Kumi Township PS bweyakola oluguudo lwe Pallisa – Kumi, nga bagamba nti sheikh Kawuta yawaayo akawunti ye UNRA kwe yassa ssente ezaali eze ssomero. Ekilala bamulumiriza okugezaako okutunda ekitundu ku ttaka ly`omuzikiti omukulu mu kibuga Kumi naliguza musigansimbi Omusomali nga ayagala kussaawo ssundiro lya mafuta, era bamulumiriza okuyiwa olukiiko oluli mu mateeka ga UMSC lwaalina okukola nalwo nassaawo olukiiko olutakkirizibwa mu mateeka.

Ssentebe wa district ye kumi sheikh Ebokorait Abudallah eyakulidde olukiiko okugoba district Khazhi sheik Kawuta.

Kyokka ye sheikh Abdul Wahab Kawuta bweyatuukiriddwa yabasekeredde yagambye nti abo bali ku byaabwe, nga bonna tekuli alina buyinza bu mugoba, era alinze bamuwandiikire mu butongole nti bamugobye sso ssi kumugobera ku mumwa na mu mawulire, era yatiisizza okubatwaala mu kkooti ssinga kabatanda ne bamuwandiikira ekiwandiiko kyonna ekimugoba. 

Related posts

Ab’ebijambiya n’obuyondo batadde abasuubuzi  ku bunkenke mu Kampala .

OUR REPORTER

Eby’okuzza Byarugaba mu NSSF bikyali mu lusuubo.

OUR REPORTER

Kkooti emugye mu palamenti lwa buyigirize.

OUR REPORTER

Leave a Comment