21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abasodokisi  bakuziza olunaku Yesu lwe yabatizibwa mu mugga Yoludaani.

SSABASUMBA w’Eklisia y’Abasodokisi Metropolitan Jeronymos Muzeeyi agambye ekikolwa ky’okubatizibwa kwa Yesu mu mugga Yoludaani, kwaleeta obwenkanya mu bantu ku nsi. …

Metropolitan Muzeeyi agamba nti wadde ensi ensangi zino eyimbirira  okwenkanankana wakati w’omusajja n’omukazi, okubatizibwa kwa Yesu kwali kwakikola dda ng’oluvannyuma lw’omukkiriza  okubatizibwa, ayingira mu Eklisia nga yenkana ne munne.

Bino yabyogeredde mu mmisa ey’okukuza okubatizibwa kwa Yesu n’okutukuza amazzi eyimbiddwa ku Lutikko y’Omutukuvu Nicholas e Namungoona mu Kampala n’agamba nti kino kyamenyawo okusosola mu kikula ky’omuntu okwaali kumaamidde ensi mu budde obwo.

Metropolitan Muzeeyi era agambye nti olunaku luno lukulu ng’abakkiriza balabirako obwetowaaze bwa Yesu ate n’okutuukirizibwa kw’okwagala kwa Katonda eri ensi bwe yasinziira awo mu kubatiza Yesu n’agamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa” nga kiranga ebirijja mu maaso, Yesu n’afirira ensi okusobola okulokola omwana w’omuntu.

Ddiini wa Lutikko eno, Fr. Dr. Nicholas Bayego yategeezezza ng’olunaku luno bwe luli olwokwezza obuggya mu bulamu eri buli mukkiriza era n’akubiriza abantu okukozesa n’okukuuma obutonde bw’ensi, Katonda bwe yatukuza oluvannyuma lw’okubatizibwa kwa Yesu.

Yesu ku myaka 30 yabatizibwa Yowaana omubatiza mu mugga Yoludaani oguli eyo mu Buyudaaya ng’akabonero akaali kamuteekateeka okutandika emirimu gy’okubuulira ekigambo kya Katonda okulokola omuntu.

Okubatiza kati kaafuuka akalombolombo akakolebwa ku buli mukkiriza okumuteekateekera obulamu obwomwoyo n’okugenda mu ggulu singa abeera amalirizza emirimu gye ku nsi.

Oluvannyuma lw’okutukuza amazzi gagabirwa abakkiriza nebagatwala mu maka gaabwe ng’eno banywebwako mpola ate okutuusa omwaka omulala, mmisa y’okutukuza amazzi lw’ekolebwa.

Related posts

Bano abasambi okwata ku kirala, n’otakwata ku mbwa zaabwe.

OUR REPORTER

Abantu 4 basimattuse okufiira mu muliro.

OUR REPORTER

Owek. Mayiga alambudde abantu ba Kabaka e Kabale.

OUR REPORTER

Leave a Comment