EMBEERA mu butale bw’omu Kampala obumu kw’obwo obukolerwamu abantu abangi, ya bunkenke olw’obutakkaanya obuliwo wakati w’ababukulembera n’abasuubuzi.
Entalo zisinze kweyolekera mu Owino, Nakasero ne Wandgeya ng’abasuubuzi basindiikiriza ababadde abakulembeze baabwe bebagamba nti pulezidenti yawa ekiragiro bave mu ofiisi ezo.
Ekisinze okuvaako obuzibu, bebakulembeze abaayimirizibwa okugaanira mu ofiisi era nebasigala nga basolooza ensimbi z’empooza ezaayimirizibwa.
Mu owino, olutalo luli wakati wa Suzan Kushaba n’abasuubuzi abawagirwa minisita wa Kampala Hajati Misa Kabanda, kyokka Kushaba alumiriza nti okubeera kwe mu Owino pulezidenti Museveni akumanyiiko.
Mu Owino kati emanyiddwa nga St. Balikuddembe, embeera yatandika okutabuka pulezidenti bweyawa ekiragiro ekigoba Mw. Nkajja Kayongo ekyawa Kushaba omukisa okwenyigawo olwo enkaayana nezitandika.
Abasuubuzi bagamba nti batulugunyiziddwa okumala ekiseera nga n’abamu ekiseera kyatuuka nebalemererwa nebava mu butale nti kyokka pulezidenti abadde ng’awulidde okukaaba kwabwe kyokka era tewannabaawo kikyuka.
Mu katale e Wandegeya, abasuubuzi baamenye ofiisi ya ssentebe waako, Muky. Maimuna Nabukenya nebagiyingira ku kifuba nebalayira nti ono tebajja kumukkiriza kudda mu katale kubanga bo bamanyi nti yagobeddwa.
Abasuubuzi balumiriza nti abakulembeze abaggyiddwa mu ofiisi baapangisizza bakanyama abatambula n’emiggo mu butale nga bwebakusanga ng’owakanya obukulembeze, bakukuba nebakugoba ne kumudaala gwo.
Wabula abasuubuzi beewuunya abantu pulezidenti beyagobye mu butale, gyebaggya amaanyi okubulemeramu nga kiraga nti waliwo amaanyi amalala wegava era kiraga nti embeera mu butale buno ejja kutwala ekiseera okutereera.
Ye Kushaba owa Owino agamba nti minisita wa Kampala talina buyinza bumugoba amulinako obuyinza y’akulira Kampala Muky. Dorothy Kisaka n’olwekyo ye abamugoba abamu ba maafiya abeenoonyeza ebyabwe.
Kushaba n’abamu ku bawagizi be baakoze omukolo nebamulayiza ng’akabonero akalaga nti bakyamukkiririzaamu era gwe baagala ng’omukulembeze.
Kyokka pulezidenti Museveni yavuddeyo n’ayita olukiiko lw’abakulembeze n’abeby’okwerinda mu Kampala wiiki eno balabe engeri gyebayinza okugonjoolamu enkaayana mu butale.