ABASUUBUZI abakolera mu katale k’e Kitemu mu Town Council y’e Kyengera bali mu maziga omuliro ogukutte ne gusaanyaawo emmaali yaabwe.
Omuliro guno gutandise ku ssaawa 10:00 nga bukya wabula nga ne gyebuli kati tegunategeerekeka kwe guvudde.
Margaret Kasibante,omu ku basuubuzi abafiiriddwa emmaali mu muliro guno ategeezezza nti bamukubidde essimu ku saawa 11:00 nga bamutegeeza ng’omuliro bwe gukutte emmaali naye n’asitukiramu okujja okulaba ng’agitaasa nti wabula waatuukidde buli kimu kiyidde.

Ono agamba nti ekizibu ky’afunye nti ne ssente z’abadde akozesa abadde yazeewola bwewozi nti nga kati tamanyi ky’agenda kukola n’asaba gavumenti okuvaayo ebayambe.
Musa Kigaaga, ng’ono ye ssentebe w’akatale kano ategeezezza nti basobodde okutuuka mu kifo okulaba nga bataakiriza emmaali y’abantu, nti wabula omuliro gubadde gw’amaanyi ddala okutuusa ebimotoka ebizikiriza omuliro lwe bizze nga bino bye biyambye okuguzikiza nga tegunnabuna mu mayumba g’abantu abaaliraanye akatale.
Idrisa Ssennyonjo, kkansala atwala ekitundu kino ku disitulikiti atuuseeko mu kifo kino ewagudde enjega n’aduukirira abasuubuzi n’amabaati basobole okuddamu okukazimba.