17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireEbyobusubuziFeatured

Abasuubuzi-bazinzeeko-bbondi-yemmotoka.

Mmeeya w’e Nakawa Paul Mugambe abiyingidemu n’abagumya okufuba okulaba nga bafuna obwenkanya.

Florence Tibikoma nga mufumbi wa mmere mu katale kano gwe baasala akambe ku bulago era nga kigambibwa Fahad Kibuuka omukozi ku bbondi eno ye yamusala akambe n’oluvannyuma n’amubbako essimu ze ze yali nazo ne ssente.

Tibikoma agambye nti Kibuuka yagezaako okumutta ku Lwokubiri  ssaawa 2:00 ez’ekiro bwe yali agenzeeyo okubanja ssente ze kubanga ye yali agabira abakozi bano emmere n’ebyokunywa.

Kibuuka bwe yalaba abantu nga bakung’aanye yeemulula n’adduka ng’ayita mu kimu ku kituli ekiri ku bbondi eno.

Abdul Lukhman Lukungu, ssentebe wa katale k’e Banda agambye nti Kibuuka baasobola okumukwata naye mu nnyumba ye basangamu olukalala lw’abantu be yali ayagala okutta omuli ne asikaali akuuma ku bondi eno.

Asabye abakulembeze okubayamba ku nsonga eno kubanga basuubira nti Tibikoma baali baagala kumusadaka .

Mmeeya Mugambe agambye nti bbondi eno tamanyi bannanyini yo kubanga nga abakulembeze tebaabategezaako nga bagizimba.

Yayongeddeko nti tebamanyi kigendererwa kya Kibuuka eky’okusala Tibikoma  bw’atyo n’asaba poliisi enoonyereze bulungi ku nsonga zino.

Omwogezi wa poliisi owa Kampala n’emiriraano Patrick Onyango yagambye nti Kibuuka baamukutte era baamuguddeko omusango gw’okubbisa eryanyi ng’aku umibwa ku poliisi ya JinjaRoad ng’okunoonyereza bakumaze era nga

 

Related posts

Obujulizi mu gwa Nandutu bwa kuwulirwa nga May 25.

OUR REPORTER

Ambulance yagudde ku kabenje nga eddusa abakyala mudwaliro okuzaala.

OUR REPORTER

President Museveni asabye banna NRM okunyweza obumu bawangule obululu obuddibwamu

OUR REPORTER

Leave a Comment