Abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu kibiina ki , Kampala City Traders Association (KACITA ), basabye gavumenti obutalowooza ku kya kuzza ggwanga ku muggalo ng’emu ku nkola y’okutangira ekirwadde kya Ebola okusaasaana.
Ssaabawandiisi wa KACITA, Thaddeus Musoke agamba nti abasuubuzi beetegefu okukolagana ne gavumenti okulaba nti baziyiza ekirwadde kino singa ebeera tegaddewo.
“Omuggalo gwa COVID-19 gwatukosa nnyo era tukyakaluubirirwa embeera, tulina looni za bbanka, batubanja ez’obupangisa ate abamu bizineensi zabwe zaggalawo, buli lwobikkula empapula z’amawulire olaba ebintu byabantu nga bitundibwa ku nnyondo,” Musoke bwe yategeezezza bannamawulire mu Kampala.
Okusinziira ku Musoke, bataddewo abantu okutambula nga basomesa abasuubuzi ku ngeri akawuka kano gyekasobola okwewalibwa era kino bakukikola nga bakolagana ne Poliisi, KCCA awamu ne Minisitule y’e byobulamu era abo abajeemera ebiragiro ebigenda okubaweebwa ebifo byabwe bijja kuggalwa.
Bino webijjidde nga abakulu mu gavumenti naddala mu Minisitule y’ebyobulamu bagenda mu maaso n’okukubiriza abantu okwewala ekirwadde kino kuba singa kyongera okusaasaana eggwanga lisobola okuzzibwa ku muggalo.
Musoke era akoowodde bannanyini bizimbe okukakasa nti bataddewo ebifo abantu webanaabira engalo ku buli mulyango oguyingira mu kizimbe era bateekewo n’obuuma obupima ebbugumu awamu ne bannannyini maduuka okulaba nti tegabaamu mujjuzo.
Ono agamba bagenda kutongoza enkola ya Bulungibwansi naye ku luno kyebagenda okwesibako kwekusomesa abantu ku kirwadde kya Ebola era nga bakutandikira mu katale ka Owino.
Kinajjukirwa nti Minisita w’ebyamawulie mu gavumenti eyawakati , Dr Chris Baryomunsi, yategeeezza ku Lwokusatu nga bwebanaba kulowooza ku kyakuteekawo Kampala n’emirilaano ku muggalo mu kaseera kano nga kyebeemaliriddeko kwekunoonya abantu bonna abatabaganako n’abazuuliddwamu ekirwadde kino.