17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abatemu bateeze omugagga nebasindirira emmotoka ye amasasi.

Abatemu bateeze omugagga Ddamulira John owe Kyotera , basindiridde emmotoka ye amasasi negayitamu negamwasa omutwe.

Kigambibwa nti ababbi bamugwikirizza ava mu bank e Kyotera, era ensimbi bakuuliise nazo.

Abaddukirize bagamba nti bawulidde amasasi agavuga ku ssaawa nga 4 n’eddakiika 25 ez’okumakya nebekukuma.

Wabula oluvannyuma lw’ekiseera bavuddeyo nebagenda okulaba ogubadde, basanze Ddamulira John avaamu omusaayi mungi nrbamuddusa mu ddwaliro e Kaliisizo, wabula ng’embeera gy’alimu mbi nnyo, abasawo kwekumussa mu Ambulance nebamwongerayo mu ddwaliro e Kampala.

Obubbi bw’emmundu buzze bweyongera mu bitundu bye Kyotera, nga negyebuvuddeko, ababbi b’emmundu baayingirira edduuka lya mobile money, nebakuuliita n’ensimbi ezisoba mu bukadde bwa shs 150.

Related posts

Owek. Mayiga atongozza ekitundu ky’omwaka ‘B ‘eky’ Emmwaanyi Terimba.

OUR REPORTER

Owabooda atomeddwa mmotoka n’atwalibwa mu ddwaaliro ng’ataawa.

OUR REPORTER

Ahmed Lwasa akubiriza abazadde okwongera okunnyikiza ebyenjigriza mu baana.

OUR REPORTER

Leave a Comment