ABALIMI n’abasuubuzi b’amatooke mu bitundu ebitali bimu basanyufu olw’emiwendo egiri waggulu ku katale.
ABALIMI n’abasuubuzi b’amatooke mu bitundu ebitali bimu basanyufu olw’emiwendo egiri waggulu ku katale.
Bagamba nti, ebbanga omusana lye gumaze nga gwaka amatooke gabadde matono mu nnimiro era ng’abagagula bagafuna ku bbeeyi ya waggulu kye bagamba nti bayambye okukola ssente.
Tasaaga Muwada omusuubuzi w’amatooke mu katale ka Kafumbe Mukasa ng’ali ku matooke g’atunda.
John Matovu, omulimi w’omu Kidda e Masaka ng’alina n’omudaala gw’amatooke mu katale e Kasubi agamba nti, newankubadde omusana gubakosezza ng’abalimi kuba kikendeeza emmere mu nsuku tekibanyiga kuba bafuna ssente okusinga ng’amatooke gali ku mudibo.
Ettooke lye twali tutunda 12,000/- mu mwezi gwomukaaga mu kiseera kino tulitunda 20,000/- nga eriyo n’agagula 50,000/- okusinziira ku bunene.
Amatooke nga gawedde okutikkulwa mu katale k’e Kasubi.
Ensawo eyali ku 120,000/-, kati egula 180,000/- ate abatunda emyera balenga 5 oba 6 ne batunda ku 1,000/- okuva ku 10 oba 12.
Ekiseera kino tukifunyeemu era abaana baffe bazze bulungi ku masomero.