Poliisi ya Kira eriko abantu 4 abagambibwa okubbisa emmundu nga babadde balina omusajja gwebagezaako okubbako emmotoka mu Kampala.
Okusinziira ku bakulu abatwala poliisi ya Kampala n’emirilaano bino byabaddewo ku Lwokusatu nga October 5, ku ssaawa 3 ez’okumakya ku luguudo lwa Northern Bypass mu zooni ya Ntebetebe okuliraana ekkanisa ya Jubilee Christian life church.
Kigambibwa nti omusajja Edward Hambisa ye yagudde mu babbi bano bweyabadde avuga emmotoka ye nnamba UBK 019L, Toyota Probox era wano yasanze emmotoka endala UBD 071E Toyota Hiace nga yabaddemu abasajja abawera 6 nga babagalidde emmundu y’ekika kya AK47.
“Ono bamukase naafuluma emmotoka naye naafuluma n’ebisumuluzo, wano omu ku babbi yayingidde natandika okuvuga wabula nannyini mmotoka yakozeseza limooti eyabadde ku kisumuluzo namusibiramu,” Patrick Onyango bw’ategeezeza mu kiwandiiko.
Onyango agamba nti ababbi olwatandise emmotoka ne nnanyini mmotoka yafunye booda booda nabagoberera nga kwatadde enduulu era wano muzirakisa yamwegaseeko nakubira poliisi ku ttaawo lye Namboole.
“Abatuuze abaliraanye ettaawo baggadde ekkubo nga ababbi tebakyasobola kweyongerayo, eyabadde n’emmundu yafulumye neyeyokya ensiko,” Onyango bw’alambuludde.
Wano abatuuze bakakkanye ku babadde basigadde emabega nebabambula awamu n’okubakuba era poliisi wano weyajjidde nebataasa.
Onyango agamba nti bano okuli; Benjamin Senyange, Evelyn Busingye, James Kanyike ne Marcy Namyalo bagenda kuvunaanibwa kwa kugezaako kubba.
Poliisi etendereza abatuuze olw’okukola ekikolwa eky’obuzira era nesaba n’abalala okubalabirako.