Abatuuze be Bunambutye mu district ye Bulambuli balumirizza poliisi ye kitundu okukoleranga ku ntoli za bagagga abababbako ettaka ne babatulugunya, bino babitegeezezza akulira bambega mu bitundu bya Elgon ASP Atomu Samuel era ne bamuloopera OC we Bunambuntye AIP Sakwa gwe balumiriza okubakuba emiggo ssaako

obutabayamba nga batutteyo okwemulugunya kwaabwe, era ne bamutegeeza bamutegeeza nga aba poliisi mu Bulambuli bwe bali abali be nguzi. Omu ku bemulugunyizza mu maaso ga poliisi ye Kakai Teopista ne bannyina nga bagamba nti balina yiika 100 naye poliisi yagaana okubayamba oluvannyuma lw`okuwangula omusango gwe ttaka, baagenda ku poliisi ebayambeko okusengula abanyazi be ttaka, nokutuusa kati bakyaali okwo. Ate Nabiya Joseph omu kubatuuza yajjidde ku miggo nga alumiriza engeri gye yakubwa amasasi mu magulu, naddukira ku poliisi wabula OC Sakwa yamugamba agende akwaate abamukubye, no kutuusa kati abaamukuba amasasi bayinaanyina kyokka nga ettaka baalinyaga poliisi netamuyamba.

Omumyuuka wa ssentebe wa LC5 e Bulambuli Baraza Mark yagambye nti ekiyinza okumalawo obuzibu buno ye kkooti okwanguya emisango gye ttaka, wabula mukiseera kino kkooti elwiisa nnyo egye ttaka. Ye akulira bambega Atomu Samuel yetondedde abatuuze ku bikolwa poliisi byekola, naye nabasuubiza okukangavvula abaserikale bonna abenyigira mu kutulugunya abantu ne mu kulya enguzi.