Abatuuze b’e Bwaise III mu Katoogo zzooni n’ebitundu ebirala balaajanidde KCCA okuvaayo ebayambe ku kutereeza emyala egyazibikira mu kitundu kyabwe gye bagamba nti gye givaako obuzibu bw’amataba okwanjala mu mayumba gaabwe naddala mu biseera bino ng’enkuba etandise okutonnya.
Bano bagamba nti okuva KCCA lwe yakola omwala omunene bo kyabakosa nnyo kubanga amazzi agasinga tebagatemera bulungi mikutu gigatwala kuyiwa mu mwala munene.
Kino kibeeraliikiriza nga bagamba nti abaana baabwe ekintu ekiberarikirizza nti abaana baabwe bandilumbibwa endwadde okuli ebidukano,Ebola wamu nendwadde endala kubanga obucaafu bwona bugwera mumayumba gaabwe.

Joyce Nabulya akola nga ow’eebyobuyonjo ku kitundu kino yategeezezza nti enkuba buli lw’etonnya abantu baabwe tebafuna ku tulo kubanga amazzi gonna ganjaalira mu mayumba gaabwe abamu ne basula nga bayimiridde olw’okubulwa we bateeka oluba, ky’agamba nti kiva ku myala egyakolebwa mu nkola ya gadibengalye.
Nabulya yalaajanidde mmeeya w’e Kawempe, Emmanuel Sserunjogi abayambe alambulengako ku bitundu byabwe naddala ng’enkuba yaakamala okutonnya okusobola okumanya embeera embi gye bayitamu kubanga balaajanidde ebbanga ddene naye tewali kikolebwa era baagala.
Muhammad Kaweke omu ku batuuze mu zzooni ya Katoogo yalaze obweraliikirivu nti ekiseera kyonna ennyumba ye yandigwa olw’amazzi amayitirivu aganjaala nga kati abeewuwe enkuba olutonya tebafuluma mumayumba .