22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abatuuze be Mbale beeraliikirivu olw’abatemu abagambibwa okuba n’ebijambiya.

Abatuuze mu disitulikiti y’e Mbale ne Butebo beeraliikirivu olw’abatemu abagambibwa okuba ab’ebijambiya ababateega mu kkubo ne babatuusaako obulabe n’okubanyagako ebintu. 
Kigambibwa nti mu bbanga lya wiiki emu, abazigu bano basse abantu 6 n’abawerako ne basimattuka n’ebisago. E Mbale baatemudde omusuubuzi Garusha Herbert gwe baatemulira okumpi n’ekikomera kye ne bamubbako ssente n’essimu,  e Kabwangasi mu disitulikiti y’e Butebo waliyo Mujule Agnes abazigu gwe baatema ne bamutuusaako ebisago n’abalala . 

Abatemu bano batambulira mu kibinja nga bagwiikiriza omuntu ne bamubba n’okumutemula. 
Ssentebe wa LC1, Kabwangasi Namudo Robert agamba nti abavubuka bato abalina amaanyi kyokka nga tebaagala kukola n’okukozesa ebiragalalagala be bakola ebikolwa bino.  
Agamba nti ensonga zino aziroopye ku poliisi naye tebafunye kuyambibwa kubanga buli olukya abantu bongera kutemulwa, babba buli kye basanze n’okusobya ku baana naddala abakeera okugenda ku ssomero. 
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon, Rogers Tayitika agamba nti abazigu bano ab’ebijambiya bakola

loodibbulooka ku nguudo ez’enjawulo mwe bateegera abantu ng’agezaako okubalwanyisa bamutema okutuusa lwe bamutta. 

Mu bano mulimu abateegera ku nguudo, abamenya amaduuka, abamenya amayumba, ababba ebisolo naddala embuzi, ente  n’enkoko, nga poliisi ekola butaweera okulaba ng’obumenyi bw’amateeka buno bulinnyibwa ku nfeete.

Related posts

Poliisi eri ku muyiggo gwa bakifeesi 20 abasse munnamagye

OUR REPORTER

Kanaabe aleppuka na gwa  kubba ekizoosi y’emmotoka.

OUR REPORTER

Bp. Michael Lubowa asabye bannayuganda  okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka.

OUR REPORTER

Leave a Comment