17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abavubuka abasangiddwa n’ebyuma by’amasannyalaze bagguddwaako gwa butujju.

POLIISI y’e Matugga mu ggombolola y’e Gombe mu Nansana Munisipaali ekutte n’eggalira abavubuka bataano abasangiddwa n’ebyuma bye babadde basumuludde ku kikondo ky’amasannyalaze.

Kigambibwa  nti  we babakwatidde babadde babitwala kubisaanuusa era nga bagguddwaako gwa butujju

Abakwatiddwa kuliko: Brian Muyinda 22, Charles Musobozi 18, Bashir Kajjo 21, Christopher Ayesiga 20, ne Steven Sseninde 27 ng’ono yabadde ddereeva wa mmotoka nnamba UBA 859L, ebyuma bino kwe bibadde bitambuzibwa.

Okubakwata kiddiridde abakulembeze b’e kyalo ky’e Kasalirwe mu ggombolola y’e Gombe nga bakulembeddwaamu ssentebe w’ekitundu kino, Luzze Experito okusanga ng’ebyuma bisumuluddwa .

Bano bategeezezza poliisi era n’etandika okubalondoola okutuusa bwe babakutte mu nkuba enkedde okutonya nga babitwala kubisaanusa.

Kitegeekese nti  ababadde ku mmotoka ne badduse kwe kukwata ddereeva naabo ababadde bazze okubitikkula nga babasanze ku kikomera okumpi ne kkampuni esaanuusa ebyuma.

Amyuka Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirano, Luke Oyowesigyire agambye nti abakwate bagguddwaako omusango gw’obutujju era bakuumibwa ku poliisi y’e Matugga ng’okunoonyerezza bwe kugenda mu maaso.

Related posts

Omusuubuzi wa sipeeya avunaaniddwa ogw’okubba emmotoka.

OUR REPORTER

UNRA eggadde oluguudo oluva e Hoima okudda e Kampala.

OUR REPORTER

Owa Boda Boda gwe babako pikipiki bamusindise Luzira.

OUR REPORTER

Leave a Comment