17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abavubuka  baffiridde mu Daamu.

Abaffudde ye Herbert Bakesigeki 22 omutuuze we Kyatuulo n’omulala ategerekeseko erinnya limu lya Charles nga ono abadde mukozi mu faamu ya Nzuneki mu gombolola ye Mijwala e Ssembabule bagudde mu ddaamu,bwebabadde bagenda okuvuba.

Okusinziira ku Ssentebe we Kyatuulo, Silvano Wakubaliho, abavubuka bano baffiridde mu Daamu ye Kyambidde,  akaato kwebabadde baseeyeyeza bwekabalemeredde n’ekabasulamu.

Waliwo n’ebigambibwa nti abavubuka bano okugenda okuvuba baasoose kwesiwa magengere olwo nebesogga amazzi,  ekyabaviriddeko okulemererwa nekabasuula mu mazzi.

Police eyitiddwa emirambo n’egitwala mu ddwaliro e Sembabule okwongera okwekebejebwa.

Related posts

Owa bodaboda eyanyakula essimu ku mukazi asindikiddwa e Luzira.

OUR REPORTER

Ekirombe ky’amayinja kiziise babiri e Kyengera.

OUR REPORTER

Banten’s Sawarna: A Hidden Paradise Facing The Indian Ocean

vega

Leave a Comment