Abavubuka baagambye nti baagala mu 2026 Pulezidenti Museveni addemu yeesimbewo ayongere okutwala eggwanga mu maaso wabula minisita Minsa Kabanda n’abakuutira okwewalira ddala eby’obufuzi eby’okuvumagana.
Minisita Kabanda yabadde ye yabadde ku ssomero lya Makerere University Primary School e Makerere mu munisipaali ye Kawempe abavubuka okuva mu bitundu eby’enjawulo mu munisipaali eno bwe baabadde batongoza enteekateeka yabwe ey’okusaba Pulezidenti Museveni asigale ng’avuganya ku bukulembeze bw’eggwanga ekisanja kino ne bwe kinaaba kiweddeko.
Minisita Kabanda agambye nti ensangi zino Bannayuganda naddala abavubuka abamu baweddemu ensa nga bwe batuuka mu kuvuganya mu by’obufuzi ate badda mu kuvuma abo be baawukanya nabo endowooza ky’agambye nti kikyamu.

Ate ye Maj. Emmanuel Kuteesa okuva mu maka g’obwapulezidenti nga y’akwasaganya ensonga za bavubuka okuva mu ‘Ghetto’ yasabye abavubuka okuteeka mu nkola obubaka bwa pulezidenti Museveni beeyambise ssente za Parish Development Model basobole okweggya mu bwavu.
Godfrey Luwagga akulira NRM mu minisipaali y’e Kawempe yasabye Bannayuganda okukozesa emirembe gavumenti ya Pulezidenti Museveni gye yaleeta basobole okukola emirimu egibakulaakulanya era nga bwe banaabeera obulungi bajja kulaba nga Pulezidenti Museveni y’alina okubeerawo ebbanga lyonna.