Police ya CPS mu Kampala ekubye omuka ogubalagala bwabadde eggumbulula abavubuka bekalakasizza mu Kibuga Kampala nga balaga obutali bumatiivu olw’akasirikiriro akali mu gavumenti ku nsonga z’abanene abogerwaako nti begabira amabaati g’abantu agalina okuweebwa abantu be Karamojja bebagamba nti newebutukidde olwa leero bakyayinayina nga tewali n’omu yakwatiddwa
Abavubuka bano okubadde abettise amabaati ate abalala nga basitudde ekipande ekiriko ebifananyi by’abanene abogerwaako nti begabanya amabaati g’abanaku kibaddeko n’obubaka obusaba ssabawabi w’emisango gya gavumenti okukwaata abo abogerwaako nti begabanya amabaati basobole okuvunanibwa.

Abavubuka bano police besanze ku Mini Price mu Kibuga wakati bagambye nti kisawaaza abanene okwegabira amabaati wabula ebakubyeemu omuka ogubalagala nebaako bekutte.
Patrick Onyango amyuuka omwogezi wa Police mu Kampala n’emirirano ategezeza nti bakutte Abavubuka musanvu kwaabo ababadde bekalakaasa ku nsonga z’amabaati
Wabula olunaku olw’eggulo Fred Enanga ayogerera police mu ggwanga yategezeza nti okunonyereza ku nsonga z’amabaati kusuubirwa okufundikirwa ku nkomerero ya sabiiti eno