14.3 C
Los Angeles
April 2, 2023
Image default
AmawulireEbyemizannyo

ABAWAGIZI ABALABA EGYA EURO, BAKWERABIZA ENDWADDE YA CORONA

Empaka za Euro zaakubiri kwezo ezisinga okulabibwa mu nsi yonna ng’ojjeko eza World Cup era nga nawadde akkadde kano ekiraddwe kya Covid 19 kisimbye amakanda mu nsi yonna, abawagizi beeyiwa ku bisaawe ebyenjawulo okuwagira amawanga gaabwe. Empaka za luno zikyaziddwa mu mawanga 11 era nga buli ggwanga lyakirizibwa ekuweebwa ennamba ya bawagizi ababale okusinzira ku bunene bwe kisaawe.

Ebibinja webigweredde, nga abawagizi 648,910 bebakalaba emipiira 36 era nga bebawagizi 18,025 abalabye buli mupiira. Ku bano, abasinze obunji babadde mu kisaawe kya Puskas Arena mu kibuga Budapest mu ggwanga lya Hungary, nga kino kibaddemu emipiira essatu wabula nga buli mupiira gulabiddwa abantu abawera 50000 nga kikola omugatte gwa bantu 150000. Bano babeera tebambadde wadde obukokolo ate nga bonna beeriraanye mu kirindi awatali kwewa mabanga olwo nebannyumirwa empaka zino. Kirowoozebwa nti empaka zino wezinakomekerezebwa, abantu abasoba mu kakadde akalamba bebajja okuba nga balabye empaka

Related posts

Makerere University yaakwongera amaanyi mu kusomesa ennimi ennansi.

OUR REPORTER

Namilyango College Vs Former Student Case Flops, Court Sets 8th, Jan 2022 For Hearing

OUR REPORTER

Ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba ewezezza emyaka 136

OUR REPORTER

Leave a Comment