Embeera e Kasangati etabuse oluvunnyuma lwa Poliisi okukwata Dr Kizza Besigye ku byemiwendo gy’ebintu egyekanamye ekiwalirizza abavubuka okukuma omuliro.

Abatuuze b’e Kasangati abatategeerekese bavudde mu mbeera ne batandika okwegugunga oluvunnyuma lw’okufuna amawulire nti Besigye akwatiddwa ku nkya ya leero bw’abadde ava mu makaage okugenda ng’addamu okukunga abantu bazuukuke beerwaneko ku miwendo gy’ebintu egyekanamye.
Bano abatalabiddwako bakira bagenda bakuma omuliro nga beeyambisa ebipiira mu bitundu bya Kasangati ku luguudo lwa Gayaza era Poliisi bakira esiitaana okuguzikiriza.