Abawagizi ba Gen. Mohoozi Kainerugaba batandikidde mu ggiya okutongoza obukiiko okuva mu byalo okugenda mu ntikko.
Bano baatandikidde mu bitundu bya Ankole nga batongozza obukiiko mu bitundu omuli Mbarara , Lsingiro, Kashari, Kazo, Rwampara, Kiruhura, Ntungamo, Lbanda n’ebiralla.
Omukolo gwabadde `mu Kibuga ky’e Mbarara ku wooteeri ya Green Wood ABA Team Chairman MK Movement abaakulembeddwa ssentebe waabwe Micheal Nuwagira amanyiddwa nga Toyota.
Baatongozza obukiiko obugenda okukuye3ga ssaako n’okusaasaanya enjiri ya Gen. Mohoozi Kainerugaba.

Omusumba Turyamureeba yawadde Muhoozi n’ekibiina kya MK Movement obukadde bubiri zibayambe mu kuddukanya ekibiina nga ceeke yagikwasizza Nuwagira.
Nuwagira naye yawaddeyo obukadde 30, Ng’obukadde 10 bwakuyamba bakateeyamba abasangibwa maka agali ku kkanisa eno n’obukadde obulala 20 okumaliriza ekkanisa.
Micheal Nuwagira oluvannyuma lw’okutongoza obukiiko yasabye ab’omu Ankole bajjumbire enteekateeka za gavumentiz’ereese mu kitundu kyabwe ekinaabayamba okubaggya mu bwavu.