Abawagizi ba NUP 32 bavunaaniddwa omusango omulala ogw’okulya mu nsi olukwe bwe baakola ebikolwa eby’ekiyeekera n’ekigendererwa ky’okuvuunikwa gavumenti.
Abawawabirwa 32 kuliko Rashid Ssegujja ,Yasin Ssekitoleko ,Robert Gumayo ,Ronald Mayiga , Gadi Kakooza , Patrick Mwase , Simon Kijjambu, Abudallah Matovu , Richard Nnyombi , Olivia Lutaaya, Ronald Kijjambu , Sharif Kalanzi, Joseph Muwonge , Mesearch Kiwanuka, Kintu Abudallah, Emma Kato, Musa Kawuma, Ibrahim Wanjala ,Asbert Nabwire nabalala babadde bavunaanibwa gw’okubeera n’ebyokulwanyisa bya UPDF okuli bu bbomu obw’omungalo.
Bwe bakomezeddwawo mu kkooti ya magye e Makindye gye bavunaanibwa, basomeddwa omusango omulala ogw’okuyeekera gavumenti ya Pulezidenti Museveni kyokka bonna ne bagwegaana.

Omusango gw’okulya mu nsi olukwe ogwabasomeddwa kigambibwa nti baaguzza wakati wa April ne May 2021 mu bitundu eby’enjawulo mu Kampala, Kireka, Nankulabye, Nateete , Kawempe ,Nakasero , Jinja ne Mbale bwe beenyigira mu bikolwa by’ekiyeekera nga bawandiisa n’okutendeka abantu okwenyigira mu bwakalintalo n’ebikolwa by’obuyeekera.
Ssentebe wa kkooti, Brig. Gen. Freeman Robert Mugabe ye yabasomedde omusango guno era ne banuukula nti si bituufu okwawukana ne ku mulundi ogwasooka bwe baagaana nga bawakanya empaaba y’oludda oluwaabi eno.
Mugabe abawawaabirwa yalagidde bazzibwe mu kkomera okutuusa nga June 5, 2023 lwe banadda mu kkooti oludda oluwaabi okuleeta abajulizi abalala.