Hajji Wumalu Dumba omusuubuzi w’emmwaanyi nga mutuuze w’e Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono, yawonende watono okuttibwa abazigu abaalumbye edduuka lye eritunda ebizimbisibwa wamu n’amaka ge ne babba ssente ezibalibwa mu bukadde 32.
Bino byabaddewo ekiiro kyikeesezza eggulo.
Okusiziira ku Hajji Wumalu Dumba ababbi bano baamenye ku saawa 7:00 ez’ekiro ne bakuba omukuumi kalifoomu ne bamuggyako n’emmundu.

Yayogeddeko nti, baasoose kumenya dduuka lye ne babba obukadde 32, olwamanze okumenya edduuka ne bamenya ennyumba ye mwasula, yagenze okuwulira nga batuuse munda n’asituka yeerwaneko ne bamusinza amaanyi ne bamukuba ku mutwe ne babba essimu ze zonna.
Yagambye nti, ababbi bwe baamaze okugenda edduuka balirese liggule ne bakunta ne ssente wamu ne ssimu .

Abamu ku batuuze abaasagiddwaawo bategeezezza ng’ obubbi we bususse mu kitundu kyabwe era ne basaba bekikwatako okubongera obukumi kuba obulamu bwabwe buli mu matigga..
Poliisi yagguddewo omusango gw’obubbi ku fayiro nnamba 17/10/05/2023 nga n’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.