21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Abaziika abafudde ebola bemulugunya.

Abantu abassibwawo okuziika ababeera bafudde ebola e Mubende ne Kassanda bemulugunyizza olwa government okulwawo okubasasula ensimbi zabwe, so nga bakolera mu mbeera enzibu ddala.

Abakozi bano bagamba nti okuva ekirwadde bwekyabalukawo mu September, 2022 baziise abantu abasoba mu 40, wabula n’okutuusa kati tebalabanga ku munwe gwa nnusu.

Bategezezza nti buli omu abanja obukadde bwa shs obusoba mu busatu, batiisizza okuddukira mu kooti etagire government basasulwe mu bwangu.

RDC Rosemary Rwabushaija agambye nti abadde tamanyi nti abaziika abafudde ebola babadde tebasasulwanga nsimbi, n’asuubiza nti ensimbi zino agenda kuzirondoola.

Gyebuvuddeko ministry y’eby’obulamu yaweereza ensimbi z’okusasula akasiimo k’abantu abakola omulimu gw’okulwanyisa ebola e Kassanda ne Mubende, gyebyagwera nga minister Jane Ruth Acheng atabukidde abakulembeze abaali baweereddwa ensimbi empitirivu, so nga baali tebatuulangako mu lukiiko lwonna okutema empenda ezirwanyisa ebola.

Related posts

FORTEBET GIFTS THRILL MASAKA, KYOTERA, KASENSERO, MUTUKULA RESIDENTS

OUR REPORTER

Abadde mulwanirizi w’eddembe ow’amazima- Kyagulanyi.

OUR REPORTER

 POLIISI EGUDDE KU MULAMBO GWO MUWALA EYATTIDDWA NASUULIBWA MU KIBIRA

OUR REPORTER

Leave a Comment