21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Ab’e Banda bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lw’okubazimbira oluzzi olupya.

Abatuuze  b’e Banda mu zooni III mu Munisipaali y’e Nakawa  bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lw’okubazimbira  oluzzi lw’omudumu olupya lwe bagamba nti lugenda kukendezaako ku bbula ly’amzzi mu kitundu kyabwe.

Abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Ben Nangabo bategeezezza nga bwe bamaze ebbanga lya myaka  munaana  nga batawanyizibwa ekizibu ky’amazzi mu kitundu kyabwe naye kati bafunye essuubi oluvannyuma lwa Sipiika w’e Nakwa Godfrey Luyombya ng’ayita mu kitongole kye ekya Godfrey Luyombya Foundation nga ayambibwako ekitongole ky’Abachina ekya Overseas China- Uganda Charity Foundation.

Luyombya yategeezezza nga bwe yatuukirira aba Overseas n’ababuulira obuzibu abatuuze bano bwe bayitamu okufuna amazzi  nabo kwe kusitukiramu ne babazimbira omudumu guno.

Oluzzi olw’omudumu olwazimbiddwa olupya.

Luyombya yategezezza nga bw’asazeewo okusaka oluzzi  luno ku lw’abakyala kubanga be basinga okutawaanyizibwa n’ekizibu ky’amazzi wamu n’okugetaaga ennyo naddala mu kwoza n’okukola emirimu gy’awaka.

Ben Nangabo, ssentebe w’omukitundu ategeezezza nga bwe bagenda okuteeka amateeka ku luzzi luno naddala nga tebakkiriza baana kuluzannyiramu era abo abanaasangibwa nga balukozesa bubi baakangavvulwa.

Omubaka wa Nakawa East mu Palamenti Ronald Balimwezo yasiimye nnyo aba Overseas okubazimbira oluzzi kyokka n’asaba Gavumenti okukendeeza ku musolo ogussibwa ku mazzi kiyambeko obutakalubiriza bantu ku kugafuna.

Zhong Shuang Quaw ssentebe wa  Overseas China- Uganda Charity Foundation yategezezza nga bwe batandika enkola eno mu myaka ng’esatu emabega era nga bazimbiddemu enzizi eziwera 30 mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo oluvannyuma lw’okukizuula nti beetaaga amazzi amayonjo.

Related posts

Poliisi ennyuludde omulambo gw’ateeberezebwa okutemulwa mu mwala e Nalukolongo.

OUR REPORTER

Pulezidenti Museveni asisinkanye Kyabazinga we Busoga.

OUR REPORTER

Abazigu basse omugagga wa “Washing Bay e Wakliso.

OUR REPORTER

Leave a Comment