Mubende. ABAKULEMBEZE be Ggombolola ye Musaale-Kiyuuni mu Buwekula -Mubende bakuutiddwa okukolera awamu kiyambe okutambuzza obulungi emirimu gya Ssabasajja Kabaka Ronald Mutebi 11. Binno byayogeddwa omumyuka wa Luwekula asooka omwami Ssempijja Andrew Mukasa, bweyabadde akwasa omwami we Ggombolola ye Kiyuuni-Musaale omuggya Ssempewo Joseph wamu n’omumyuka we Ssemitego Vicent offiisi ye ggombolola eno. Ono yazze mu bigere bya Lumbuye stephen nga omukolo gwabadde ku ggombolola ku lw’okunna. Omwami Ssempewo Joseph eyabadde n’omumyuka we Ssemitego Vicent n’abakulembeze abalala yategezeezza Ssekanolya nti bakufuba okugatta abantu bakabaka bonna nga bali wamu. Yeeyamye n’okuzza wamu n’okukuuma ettaka wamu n’ebintu byonna eby’obwakabaka ebiri mu ggombolola linno.

previous post