17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireEbyobusubuziFeatured

Ab’ebijambiya n’obuyondo batadde abasuubuzi  ku bunkenke mu Kampala .

Obunkenke bweyongedde mu basuuubuzi  olw’abantu abagambibwa okubeera ab’ebijambiya  nabo abatandise okubateega  nebabatematema  nebabanyaga ensimbi zabwe.
Edward Ntale ssentebe w’e kibiina ky’abasuubuzi mu akeedi ekya UTEA  agambye nti waliwo ebibinja bya babbi abatambula n’ebiso n’obuyondo ababamazeeko  emirembe  babateega mu nkuubo z’ebizimbe  ku makya nga bazze okukola n’ekiro nga banyuka nebabatema ebiso ku mitwe nebabanyagako ssente zabwe .
Abasuubuzi abasoba 9  bapooca n’ebiwundu  mu malwaliro abalala bali waka   tebakyasobola kugya kukola olw’obulumi bwebayitamu , abalala bizinensi bazigaddewo olwa ssente zabali bategese okwongera mu bizinensi okuzibba nga kati tebakyasobola kuddukanya bizinensi zabwe.
Abasuubuzi abalozeza ku bukambwe bwa bazigu okuli Moses Lwegaba banyonyodde nti abazigu babaza nga  badayo awaka ne kumakya nga bazze okukola  nebabetgera okumpi n’omwalo gwa Nakibuvubo  nebabatambulirako emabega nebabakuba n’okubatema ebigambibwa okubeera ebijambiya n’obuyondo ku mutwe nebagwa wansi nebabanyaga  nebamala nebadduka nga bolekera ebitundu okuli Katwe, ne n’oluudo lwa Namirembe ate   nga babeera  mu bibinja 
Abasuubuzi abalala embeera eno bnagitadde ku bijambiya abatandise okutigomya ebitundu okuli Kyengera n’ebitundu ebirala  nti  kati bavudde mu kulumba abali munda mu mayumba kati bastandise kutigomya basuubuzii.
Kyoka embeera eno bagitadde kubamu abali abatembeyi abaali bakolera ku nguudo za Kampala bebagoba kyokka KCCA netabalaga wakukolera  nti bano bandiba  bebatandise okwefulira abasubuzi  babanyage kubanga tebakyalina mulimu gwebakola .
Ntale awanjagidde ebitongole bya Securite okuvaayo batandike okukola ebikwekweto  akawungezi ne kumakya  ennyo kubanga obamenyi ba mateeka  bwebudd mwebasinga okweyagaliramu naye wekinabalema abasuubuzi bangi bolekedde okufa  ebijambiya n’okufiirwa emaali yabwe.

Related posts

Poliisi etandise okunoonyereza ku ngeri Asikaali e Magere gyeyalumbiddwa.

OUR REPORTER

Global Funds Expanding Into Massive Chinese Investment Market

vega

Minisita Nandutu ayimbuddwa ku kakalu ka kooti ka bukadde 10.

OUR REPORTER

Leave a Comment