Abakulira ebyokwerinda okuva mu bitongole ebyenjawulo mu Uganda nga Police, UPDF n’ebirala basisinkanye abantu abakola emirimu egyenjawulo okutema empenda ku butya bwe bayinza okumalawo obumenyi bw’amateeka mu Kasangati.
Ensisiknao eno eyayindidde ku Afro Club e Kasangati yabaddemu, bassentebe b’ebyalo, abagoba ba Bodaboda, abasumba bannannyini Makanisa, bannannyini mabaala n’abalala.
Mu nsisinkano enop, abantu baalaze poliisi ebibaluma era aduumira Poliisi mu Kampala Metropolitan Steven Tanui yeeyamye okwongera enkatwagana n’abantu kibasobozese okuwanga poliisi amawulire gaabo abamenyi b’amateeka bakwatibwe.