Enkya (Lwakutaano okutuuka ku Ssande) emmotoka ezisukka mu 15 zaakwetoloola ebibuga bibiri okuli; Naivasha ne Nakuru e Kenya mu mpaka z’okulwanira obubonero ku ngule y’Afrika(African Rally Championship).
Yassin Nasser kyampiyoni w’engule y’eggwanga(NRC) sizoni ewedde, oluvannyuma lw’okulemererwa okwetaba mu mpaka z’eggwanga bbiri (Mbarara ne Ssembabule) sizoni eno agamba nti amaanyi ayagala kugateeka ku kukung’aanya bubonero ku ngule y’Afrika(ARC).
” Guno mulundi gwa kusatu nga neetaba mu mpaka zino (2017,2018 ne 2019), omulundi ogusembyeyo nakwata kifo kya 9. Kino kitegeeza obumanyirivu mbulina era y’ensonga lwaki ssaavuze Ssembabule kuba neekengedde nti emmotoka yange eyinza okufunirayo obuzibu nensubwa eza ARC,” Nasser bwe yaweze.