OMUBAKA wa pulezidenti mu district ye Mukono Hajjati Fatumah Ndisaba Nabittaka alabudde okukwata abakulembeze b’ezikiriza bonna abanagezako okutataganya enteekanteeka y’okugema ekilwadde kya Polio ekyekikuggo mu district ye Mukono ekitongozeddwa olunnaku olwa leero ku ddwaliro enkulu e Mukono elya Mukono General Hospital.
RDC Ndisaba ankoddeyo ezikiriza emannyiddwa nga eya “ Kanyiriri” gyagambye nti eno tekiririza mu kugema saako n’okusoma abaana nga banno baze basibira ekkuli buli nteekanteeka ya gavumenti ebeera ereteddwa nga munno mwotadde n’okugema ekilwadde kua senyiga omukabwe.
Ono awakanyiza ebigambibwa ng’eddagala lino ligenda kukoosa abaana nti kino siituufu , era bwatyo nasaba abakulembeze bonna kumutendera ogwenjawulo okuvaayo okugata eddoboozi ku kiwendo kino okulaba nga baana be ggwanga bagemebwa saako n’okugoba ekilwadde kino Mukono saako ne Uganda okutwaliza awamu.
Ndisaba okutidde abakyala okubeera abasaale munsonga eno kuba ebiseera ebisinga abami bwe bakizula nga’baana bafunye obulemu babalekera ba Maama ne babonabona nabo nga bo bawoza nga bwe batazaala baana baliko bulemu. Era ono alabudde abakulira amassomero ne banyinigo obutagezako kungira basawo banno kuyigira massomero kugema bayizi abagwa mu myaka egyo.
Dr Stephen Mulindwa nga yatwala eby’obulamu mu district eno agamba nti abaana 147000 bebagenda okugemwa mu kiwendo kino ekigenda okumala ennaku ettaano okwetolola district ye Mukono ekya yumba ku yumba omwana asobola okulemala saako n’okuffa nga buvunanyizibwa bwaffe okulaba nga baana balamu, eddagala lyekenenyezeddwa bulungi nga teririna buzibu bwonna nga kutandikiria okuvira ddala kumwana ow’olunnaku olumu okutuuka ku myaka ettaano.
Ono agenze mu maaso nategezza nti newakubadde ng’omwana abadde yakamala okugemesebwa ekilwadde kino , era mu kino ekiwendo wakudibwamu.
Ye ssentebe wa district eno Rev Dr Peter Bakaluba Mukasa asimye gavumenti olw’okufuba okulwanyisa ekilwadde kino mu baana kati emyaka 30 obulamu bwe bugagga, omwana bwalemala amenya nnyo twagala ebiseera eby’omumaaso ebyabaana okubeera ebitagavu, era ono asabye abazadde okutakweeka baana kuba be bakulembeze benkya.
Ye akulira abakozi James Nkata agamba nti abasawo abagenda okukola omulimu gunno batendekeddwa bulungi era bwatyo nasubiza okulaba nga bakola omulimu gunno bulungi era bwatyo nasaba abakulembeze ku mitendera gyonna okufuba okulaba nga bakuuga abantu okugemesa abaana babwe.
Bo abasawo balaze okusomozebwa kwe bolekedde nga bakola omulimu gunno gwe bagambye nti munene nnyo gye bali kuba batono nnyo ate nge bitundu ebibawereddwa binene nnyo nga bagala bogezeko ku muwendo.
Wabula bagambye nti tebasanze nyo Kusomozebwa mu bazadde kuba baludde nga balinabo munteekateeka za gavumenti eza njawulo, wabula nga mu makka agamu tebasazewo abazade babwe nga bakozi bawaka baganye okuwaayo abaana,nebasaba abazadde okugemesa abaana babwe.
Ends