22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Agambibwa okubba abakkiriza mu kkanisa ez’enjawulo bamukutte.

OMUVUBUKA abadde agufudde omuze gw’okugendanga mu kkanisa ez’enjawulo n’abba abakkiriza ku luno talutonze, abatuuze bamukutte n’atwalibwa ku poliisi y’e Maganjo gy’akyakuumirwa.

Frank Kiryomu 24, abeera Kagoma Maganjo y’akwatiddwa lubona ng’abba essimu ne jenereeta mu kkanisa.

Ono okukwatibwa kiddiridde abakkiriza mu kkanisa ya Deliverance of Christ Glory okwemulugunya entakera ku bintu byabwe okubula mu ngeri etategeerekeka.

Kiryomu yasoose kujja mu kkanisa eno n’abbayo essimu ya Jennifer Mercy oluvunnyuma n’agenda mu kkanisa endala eya Light Church House mu Kijapan n’alimba abakkiriza nti kitaawe afudde n’asaba bamwazike ku jenereeta ebayambeko mu lumbe wabula nga kino yakikola mu lukujukujju lwa kugibba kubanga kitaawe yali tafudde.

Oluvannyuma lw’okutwala jenereeta y’ekkanisa, Paasita David Bahati yatandika okwemulugunya ng’omuvubaka tagikomyawo olwo n’atandika omuyiggo era n’akwatibwa n’atwalibwa ku poliisi y’e Maganjo n’aggulibwako ogw’obubbi ku SD Ref: 09/09/05/2023.

Related posts

Tayebwa alabudde ababaka mu Palamenti ku nsonga  ennyonyi ya Uganda Airline.

OUR REPORTER

IGP  Okoth ategeezezza nti abasse omupoliisi e Luweero bagenderedde kutwala  mmundu basobole okuzeyambisa mu bubbi.

OUR REPORTER

ENNYONYI EGUDDE ABADDE AGIVUGA ASIMATTUSE

OUR REPORTER

Leave a Comment