17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Agambibwa okubba mmotoka alemereddwa okwewozaako.

OMUSUUBUZI agambibwa okubba mmotoka n’agikyusa nnamba puleeti  n’okukuutiza ebiwandiiko byayo aweereddwako obujulizi ne bimukalira ku matama n’agamba nti talina bibuuzo by’amubuuza kuba naye alina ebiwandiiko ebituufu.

Bino bibadde mu kkooti y’omulamuzi Adams Byaruga e Mengo omusuubuzi wa sipeeya e Bwaise Ssekasi Mayambala 40, mutuuze mu Kikoni e Makerere mu munisipaali y’e Kawempe bw’aweereddwako obujulizi Hamuza Zziwa 36 eyabbibwako mmotoka eno n’ekyusibwa ebigikwatako byonna.

Zziwa yategeezezza kkooti yagula mmotoka ye Town Ace UBA 620X okuva mu ba Ssekana Motors nga April 29, 2021 ku bukadde 16 n’agiwa omukozi okugivuga wabula nga December 5, 2021 yamukubira essimu nti emmotoka bagibbye mu kifo we yali agipaakinze omuyiggo we gwatandikira okutuusa lwe yakwatibwa oluvannyuma lw’omwaka gumu n’emyezi esatu.

Yagambye nti baagikwatira mu Ndeeba ewa Bob Motors nga waliwo abasajja abagireese okugikyusa card yaayo kyokka Bob bwe yagyetegereza nga si yeeyo gye yabaguza kuba yo yali ya “4wheel” kyokka nga baleese ‘2Wheel’ nga yakyusibwa Chassis ate ne nnamba puleeti nga yaakicupuli newankubadde yali esoma UAT 408T nga gye yabaguza kwossa ne yingini yaayo okuba nga yakyusibwa ennamba zonna nkuutize.

Yannyonnyodde nti ekyewunyisa emmotoka bbiri zi UAT zonna ku kkubo zaali zitambula okusinziira ku URA era zaakwatibwa ne zireetebwa ku Poliisi e Nateete oluvannyuma nayo eyata UAT entuufu eya Zziwa encupula n’esigala era gy’ekuumibwa.

Kyazuulibwa luvannyuma nti eyo eyaleetebwa si ntuufu nga namba puleeti eriko ya kaveera ncupule era Bob yagigaana awo olukwe lw’okugitwala we lwakoma poliisi n’ebiyingiramu n’eginunula.

Zziwa yayongeddeko nti, abasajja abaakwatibwa baalonkooma Ssekasi era bwe yatuuka ku Poliisi n’abagamba bamuleke aggya kubimala n’asasulako n’essente ezimu. Yasabye omusajja ono amuddize mmotoka ye era amusasulire ne ssente z’atadde mu musango.

Omulamuzi Byarugaba yatumizza Bob Kayemba alabikeko mu kkooti nga September 21, 2023 ayongere okuttaanya ku by’ogerebwa ku musango guno.

Related posts

Eby’okusalako amazzi mu malwaliro ga gavumenti Nabbanja abiyingiddemu.

OUR REPORTER

OBUBAKA BWA SSAABASAJJA KABAKA RONALD MUWENDA MUTEBI II OBW’OKUKUZA OLUNAKU LWA BULUNGIBWANSI OMWAKA 2022.

OUR REPORTER

Omusumba w’e Hoima eyawummula, Bp. Dr. Baharagate afudde.

OUR REPORTER

Leave a Comment