Amyuka Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Owek. Ahmed Lwasa asabye abazadde okwongera okunnyikiza ebyenjigriza mu baana era babayambe okudda ku ssomero okutangaaza ebiseera byabwe eby’omu maaso.
Okusaba kuno Owek. Lwasa yakukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna bw’abadde atikkula abakulembeze ku lukiiko lwessaza rye Kyaggwe Oluwalo.
Owek. Lwasa era yasinzidde wano neeyeebaza bannanyini masomero ab’enjawulo abawaddeyo Sikaala okuwa omukisa abaana b’eggwanga abatalina busobozi okufuna omukisa ogusoma.
Ono era yakubiriza abakulembeze bano nga baweereza okunyweza obumu kibayambe okugussa obuvunannyizibwa bwabwe eri Nnamulondo.
Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza lino Ssekiboobo Elijah Bogere Lubanga Mulembya yategeezeza nti basazeewo okukiika embuga nga bakulembeze okwongera okunnyikiza amakulu g’ ennono eno mu bantu ate nokwekubamu ttooci ku ntambuza y’emirimu.