Akalipagano k’ebidduka akasusse ku nguudo ez’enjawulo leero ku Lwokusatu kavudde ku masomero agawummuza abaana.
Bw’abadde annyonnyola ku mbeera eno, Rodgers Nsereko, akulira tulafiki polisi mu Kampala n’emiriraano ategeezazza nti amasomero agasinga gakomekkerezza oluwummula lwa ttaamu esooka ekireetedde mmotoka z’abazadde okukwatirira ku nguudo n’okuleeta akalippagano ku nguudo ez’enjawulo.

N’olwekyo tukubiriza abagoba b’emmotoka bonna okugoberera amateeka g’enguudo n’okukuuma empisa okwewala obulippagano naddala mu masangazira g’enguudo.
Asabye abavuga okugoberera layini n’obutavuga na kimama obutakozesa balala nsobi.