Alina amagezi
Covid envuunula bibya
Ate akalulu kaggwa
N’okulayira kwaggwa
Kyokka Covid tanaggwa
Eby’obufuzi tebinaggwa
Obusungu tebunaggwa
Buli kimu mukyekolera
Buli wamu mwemalirira
Mukakasa mukyakkiririzibwamu
Lwaki amalala temugawanika ku kibanyi
Mwamegga, kyokka n’okuluma mukyaluma
Omusawo asawule, omujjanjabi ajanjabe
Omukuumi akuume, Munnamawulire awulizise
Omuyigiriza ayigirize, omusumba asumbe
Obulamu bwa bannansi
Buli mu mikono gya bannabitone
Be bakkiririzibwamu, be bakoozebwa
Be ndabirwamu, be ky’okulabirako
Be muba mugema mu lwatu
Be muba mutuma, be muba musasula.
Bannabitone baalina obubaka
Obubaka bw’atuuka, bwategeerebwa
Abaali babanyooma, n’okubalengezza
Baawawamuka, baasisimuka, baazuukuka,
Baasonyiwazibwa, baanyiiga
Lumiima mawuggwe yabeeyimirira
Omuggalo gwamiima abamu
Ekkoligo lyakaliga bitone
Ebitone ebyasaaalimbira mu mbuga ya ssalambwa
Alone and frightened
Ndiwulira, Gampisi, n’abalala
Batuwangaazizza okutuuka leero
Envuunula bibya ya Covid
Ekwasibwe bannabitone
Bataase eggwanga
Mpozzi nga ssi bya ddala.
Tetukyanaaba mu ngalo
Tetukyenaanika bukookolo
Tetukyewa mabanga
Taxi zaddamu dda akabindo
Tetukyatya bufumito
Tetukyabonga
Tetwebikka ko nga twekyamula
Manyanga okweyasimula
Tetukyatya curfew
Kyokka nga ate ye lumiima mawuggwe
Covid 19 asitudde enkundi
Lwaki temubikwasa abawuliririzibwa
Era abakkiririzibwamu
Kale alina amagezi, ategeere