Kisse kasiiso, kiteemu
Kirekeemu, kyenenyeemu
Kyesonyiwemu, ndaba kigwo bugwo
Ndaba gwe gusoose, ate kye kisoose
Mbu eggali bwe takumeggamu
Yandikulema okuvuga
Bw’ogwa n’otofa, osituka
Bw’oba n’ebinuubule, obijanjaba
Bw’oba n’ebimenyefu, obiyunga
Bw’oba ogudde mu nfuufu, ogyekubako
Bw’oba ogudde mu ttoomi, olinaazaako
Engoye zo ezisaabaanye
Ozikuba olusabbona
N’ozinnyikiza mu kyovu
N’ozikunya n’okamula
N’oyanika n’ogolola
N’ozenaanika olulala ate
N’oddamu nga weeteesezza
Kiteemu ….
Kyokka nga tokiteeredde ddala
Kirekeemu…….
Kyokka nga tokirekedde ddala
Kyenenyeemu……..
Kyokka nga tokyenenyerezza ddala
Kyesonyiwemu…….
Kyokka nga tokyesonyiyidde ddala
Okugwa obugwi ssi nsonga
Okusituka buli lw’ogwa bwe buvumu obukufuula omuzira
Kristu yagwa n’omusaalaba gwe
Kyokka yasitunga
Byonna yabigumira era yawangula
Abasinga gwe tugoberera na kaakano Alina amagezi ategeere……