Oludda oluvuganya mu palamenti lwongedde okubanja alipoota eyava mu kakiiko ka palamenti ak’ebyobusuubuzi ekwata ku biki ebyava mu kunoonyereza ku ndagaano y’emmwaanyi gavumenti gye yakola ne kkampuni y’Omuyitale eya Vinci.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyobusuubuzi era nga ye mubaka wa Mbarara City South, Mwine Mpaka, wiiki bbiri eziyise yavaayo n’ategeeza palamenti nga bwe bamaze okukola okunoonyereza okumala ku ndagaano eno nga balindiridde eteekebwe ku lukalala lw’ebirina okuteesebwako mu palamenti era ekubaganyizeeko ebirowoozo mu lujudde.

Sipiika wa palamenti, Anita Among, bw’atyo yamusuubiza nga bwe yali eteekeddwa okwanjulwa mu palamenti wiiki ewedde ekitaasoboka nga ne kubigenda okuteesebwako enkya ensonga eno teriiko.
Akuulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti, Mathias Mpuuga ategezeeza nti bazeemu ne bajjukiza sipiika ku nsonga eno nga basuubira baakumanya ebyava mu kakiiko wiiki eno.
Ono okwogera bino abadde aggulawo omusomo gw’abooludda oluvuganya mu palamenti ogwokwongera okunyikiza ebirowoozo byabwe n’enkola yaabwe ku bye bazze banjula mu palamenti ku nsonga ez’enjawulo ezikwata ku ggwanga era nga lutuude ku palament.
Mpuuga ategeezezza nti mu kadde kano bonna ababaka be bamala dda okutegeera eky’okukola n’ategezeeza Bannayuganda nti bagenda kubaweereza awatali kutya kwonna nga n’ensonga y’amateeka omusanvu agakwata ku misolo agali mu kubagibwa kati bateekateeka alipoota egakwatako okulaba oba nga ddala eneekwatagana ne ya gavumenti.