Gavumenti ya bannamagye eyawamba obukulembeze bw’eyali Pulezidenti omulonde, Alpha Conde era ne bamukuumira mu buwambe, balangiridde entegeka ey’okumutwala mu kkooti n’abakungu abalala 26 abaali mu gavumenti ye bavunaanibwe emisango egyekuusa ku kutta bannansi mu kiseera we yabeerera mu buyinza.
Emisango akola nga ssaabawaabi wa Gavumenti y’abawambi bano, Alphonse Charles Wright gye yalangiridde ku Conde (84) ne banne mulimu; okutemula bannansi, n’okwonoona ebintu e Guinea.
Mu misango emirala egibateereddwako mulimu; okukwata n’okuggalira abantu abatalina musango, okuwamba abantu abaali bavuganya Gavumenti ye, okutulugunya abantu, okukwata abakazi n’okunyagulula eggwanga.
Abamu ku bakungu abanokoddwayo okuvunaanibwa mulimu eyali akulira kkooti ya ssemateeka, abaaliko basipiika ba Plamenti, eyali katikkiro w’eggwanga, n’abaali baminisita, abaali ababaka ba palamenti n’abaali bakulira ebitongole by’ebyokwerinda.
Okudobonkana mu bukulembeze bwa Conde kwava wa?
Conde eyasooka okufuuka Pulezidenti wa Guinea omulonde ng’akubiddwaako akalulu mu 2010, yasobera bannansi bwe yakulemberamu okutigaatiga ssemateeka n’aggyawo ekkomo ku bisanja eryali ery’ebisanja ebibiri asobole okwesimbawo ku kisanja ekyokusatu mu October wa 2020.
Eyali amuvuganya mu kalulu ako, Cellou Dalein Diallo ne banne baasigala bakukkuluma nti akalulu ako kaalimu ebirumira bingi ebyavaako obuwanguzi bwa Conde ku bitundu 59.5 era okuva lwe yaddamu okukulembera eggwanga eryo bannansi baali beekalakaasa olutatadde.
Mu kwekalakaasa kuno ebitongole by’ebyokwerinda byattiramu abantu abawera n’okusiba abalala bangi ne kikuumira eggwanga mu mbeera ey’akatyabaga era oluvannyuma Conde yaggyibwa mu ntebe ng’awambibwa bannamagye mu September w’omwaka oguwedde nga bannamagye bano baaduumirwa Colonel Mamady Doumbouya, eyaliko omuduumizi w’eggye erikuuma Pulezidenti era n’alayizibwa nga Pulezidenti ow’ekiseera.