Amyuka omukulembeze w’eggwanga, Jesca Alupo agguddewo ekkolero ly’ebyokunywa erya Crown beverages Limited efulumya Pepsi, Mirinda, n’ebirala ku lw’e Ntebe.
Amos Nzeyi, akulira ekkolero lino yagambye nti liwemmense obuwumbi 339 okulikola.

Lino lisangibwa kakungulu bwebajja e Ntebe. Alupo akikiriddde Pulezidenti Museveni. Asiimye aba Crown Beverages okuyambako okutondawo emirimu egigenda okugasa Bannayuganda abasukka mu mutwalo gumu abagenda okufuna mu kkolero lino.
Omukolo gubaddeko abakungu, bannabyabufuzi ne baminisita omuli oweebyokwerinda Jim Muhwezi, David Bahati ow’ebyobusuubuzi n’amakolero, Amama Mbabazi, Ruhakana Rugunda n’abalala.