Poliisi n’amagye mu District ye Mityana gazinzeeko ekifo awategekeddwa okukuza olunaku lw’abakyala mu district eyo ekitadde abatuuze ku bunkenke.
Emikolo gino gitegekeddwa ku kyalo Bekiina mu Ggombolola ye Butayunja e Mityana.
Olunaku lwajjo ng’enteekateeka zikolebwa, DPC Swaib Taban ne RPC onencan basoose kuwanyisiganya bisongovu n’abakulembeze ba district, ng’abebyokwerinda balumiriza nti olukungaana lwabadde lwa kibiina ki NUP, sso ssi district ng’abakulu bwebaasaba.
Gyebyaggweredde nga police ebalabudde nti enteekateeka z’okukuza olunaku lw’abakyala mu Mityana baziyimirize.

Wabula Omubaka omukyala owa District ye Mityana Joyce Bagala Ntwatwa yagambye nti ebikolwa bya police biraga lwatu nti ezannya byabufuzi ebirinnyirira ab’oludda oluvuganya government, era nti yatuuse n’okuwamba emizindaalo egibadde gigenda okukozesebwa ku mukolo.
Era bwerukedde leero, nebagenda okutandika emikolo police n’amagye basanze gayiiriddwa mu bungi, omuli ne mmamba ezisimbiddwa mu kifo ewasuubirwa okubeera emikolo.
Wabula DPC Swaib Taban agambye nti ekibaleese mu kifo ekyo kukuuma mirembe.