AMASASI ganyoose e Katooke – Namboole e Kireka mu munisipaali ye Kira amagye bwe gabadde gasengula abatuuze abagambibwa okwesenza ku ttaka ly’ekisaawe ky’e Namboole, abeesisigiriza babakubye kibooko.
Ekifo kino ekiri okumpi n’ekisaawe ky’e Namboole, ng’abatuuze bano babadde baabasibirayo oluvannyuma lw’amagye okuzimbako bbugwe nga beetooloza ettaka ly’e kisaawe ky’e Namboole era abatuuze bano okuvaayo babadde bayitira mu bigoma.
Amagye agazimba ekisaawe kino bakedde okuzingako batuuze bano ababadde baalemera ku ttaka lino, nga bagenda bamenya amayumba g’abatuuze bano nga beeyambisa abavubuka ababadde babagalidde emiggo, ensuululu n’ennyondo okumenya ennyumba zino.
Mu kavuvungano kano waliwo omugoba wa bodaboda okuva ku siteegi y’e Namanve Moses Wambi 18 akubiddwa essasi ku kibegabega ne limuyitamu ne lifulumira mu mugongo. Atwaliddwa mu ddwaaliro ly’e Ggwatiro.

Omu ku batuuze be bagobye Ronald Ssegawa 27 agambye nti amagye gano gabasazeeko ku ssaawa 4:00 ez’oku makya ne batandika okubamenyera ennyumba zaabwe nga mwebali ng’era ababadde bakyaggyamu ebintu byabwe bakubiddwa emiggo emiyitirivu .
Wabula omumyuka w’omwogezi w’amagye Col. Deo Akiiki agambye nti zibadde wakati we ssaawa 3:00 ne 6:00 abantu nga bakulembeddwa omumyuka wa Ssentebe wa zooni ya Katooke, Godfrey Kawooya n’omulala ategeerekeseko erya Masada abakulembeddemu abatuuze abeesenza ku ttaka ly’e Namboole ne balumba bayinginiya ba UPDF abali mu kuzimba ekisaawe ky’e Namboole nga bano babadde bali mu kuggulawo empenda z’ettaka ly’ekisaawe.
Babalumbye n’ejjambiya, obusaale wamu n’amayinja ne babakuba era mu kwetaasa bakubye amasasi 3 mu bbanga okugumbulula banne ba Kawooya kyokka ne balemerako era mu kavuvungano kano abajaasi basatu balumiziddwa okuli ;Pvte Jackson Masereka ng’ono bamutemye engalo kyokka bo abantu abalumiziddwa tebannabamanya.