Bya Musasi Waffe
Akakiiko aka covid task force mu yuganda kagadde assomero lya Bududa MU YUGANDA YONNA oluvannyuma lw’abayizi okukeberebwa ne basangibwa nga balina Corona, akulira COVID task force era nga ye yategeezezza nti bagize baggala Amassomero gonna era abayizi ne baddizibwa eka okumala ennaku 42. era yagambye nti bagenda kukebera amasomero amalala gonna agali mu agasigadde nga gakyasomesa, akulira abasawo aba Corona mu Buduuda Zeresi Nabusayi yagambye nti wadde abaana bano baazuuliddwamu Corona naye embeera yaabwe ssi mbi era bagenda kubaweera eka obujjanjabi kubanga ssaawa eno tewali kifo kya kubassaamu kalantiini. Amyuka omukulu w’essomero lino Davies Wakoba yagambye nti bakoze kyonna ekisoboka okutangira Corona naye era abalumbye, wabula wadde essomero liggaddwa nzikiriziganya n’okusalawo kwa ttasiki ffoosi naye ate kigenda kwongeramu okuziŋŋamya mu bayizi kubanga babadde baliko we batuuse ku by’ensoma. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon ASP Rogers Tayitika agambye nti poliisi egenda kussa obukuumi mu kitundu kino okulaba nga tewali muyizi wadde omusomesa yenna asemberera essomero lino okumala ennaku 42.