14.6 C
Los Angeles
December 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Amazzi gasannyalazza entambula e Kalungu.

EBY’ENTAMBULA,obusuubuzi n’ebyensula e Kalungu bizeemu omukoosi olw’emigga okubooga amazzi ne gaanjalira mu nguudo,ebizimbe by’amadduuka wamu n’amaka.

 Mu Lukaya Town Council abasuubuzi bali bunkenke oluvannyuma lw’omugga Kattabazungu oguyita mu kitundu kino okubooga amazzi ne ganjala mu bizimbe by’amadduuka n’ebisulwamu nga kati gali ku kalebwerebwe ka kusala luguudo lwa Kampala-Masaka.

Bangi ku basuubuzi bafulimizza emmaali mu bizimbe  wakati mu kusoberwa ekiddako.

Okusinziira ku bamu ku bakulembeze ba LCI mu bitundu ebisinze okukosebwa okuli Rashid Kibidde owa Central Cell,Hajji Edrisa Kayemba owa Master Cell,Charles Ssentongo owa Juma Cell,Anatoli Mutebi owa Kkulubya Cell,Henry Mutebi owa Agip Cell ne Kkansala Nsubuga Muzafaru ow’abavubuka,abatuuze bali mu bweralikirivu nti olw’endwadde eziva ku bucaafu eziyinza okubalukawo obudde bwonna olw’amazzi gano okujjuza ezimu ku kabuyonjo.

Akulira poliisi y’e Lukaya Vianney Birungi a

yatuseeko mu kitundu kino n’asaba abantu okubeera abegendereza naddala ku baana abato n’amasanyalaze agayinza okugatta mu mazzi gano ne galeeta obuzibu obulala.

Abatuuze okuli Sulaiman Bukenya,Patrick Nsubuga,Baswadde Jjingo n’abalala abamanyi ku byafaayo by’ekitundu kino bategeezezza nti embeera y’omujjuzo eno etera okutuukawo buli luvannyuma lwa myaka kkumi ng’enkuba ettonya nnyo nga bwe guli mu kiseera kino,kyokka era olunwe balusonze ne ku bantu abeefunyiridde mu kusaanyawo obutonde bwensi obwatangiranga amazzi ag’ekika kino.

Ezimu ku nguudo ezikoseddwa ennyo kuliko olwa Lukaya-Lwabenge,Lukaya-Lusango-Kyamuliibwa,Villa Maria-Gomba n’endala era mu kiseera kino ebyentambula bizibu ddala.

Related posts

Ow’emyaka 34, akubiddwa amasannyalaze ne gamuttirawo.

OUR REPORTER

Basse omusiraamu gwe bateeberezza okubba embizzi.

OUR REPORTER

YINGINIYA E KASESE ASIBYE KU BUTIIMU OBUTONO N’AKUBA OBUKADDE 201

OUR REPORTER

Leave a Comment