21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
Amawulire

AMAZZI GASANYIZZAAWO ENTINDO SSATU MU

MANAFA: Embeera ya district ye Manafa ku bye nguudo eyongedde okwonooneka nnamuttikwa we nkuba afudemba ennaku zino bwasanyizzaawo entindo ssatu nga zisanyiziddwaawo amazzi nga kivudde ku mugga Kamisaru okubooga ekirese ebye ntambula ne bye nfuna nga bizibuwadde mu bitundu bino nga abasuubuzi basobeddwa ku kyo kutambuza ebintu byamaguzi byaabwe ekireseewo obulamu okukaluba.

Ebitundu ebikoseddwa kuliko Butiiru T/C,  Bugobero T/C ne Buwakoro T/C nga kati abatuuze mu ttawuni kkanso zino ebbiri tebakyasobola kutambuza byamaguzi ne bennyini okutambula ssaako okugenda mu ddwaaliro naddala abakyaala be mbuto wamu na balwadde, kubanga eddwaaliro eriyamba ebitundu bino lye Bugobero Healthy Center 4.

 Yinginiya wa district ye Manafa Denis Alunyo yagambye nti ekizibu kye balina ze nsimbi ezitabamala kuzimba ntindo zino nti era district yabawadde obukadde 85 mu mwaaka gwe bye nsimbi guno nga tezimala kukola ku nguudo ne ntindo, ono ate akoonaganye no mubaka wa palamenti owa Butiiru county Godfrey Wakooli eyagambye nti district yaweebwa obukadde 149 nga za kuzimba ntindo kyokka nga nazo tezimala kubanga okuzimba entindo ezisobola okugumira amazzi agava mu nsozi kyetaagisa obukadde 200.

Abatuuze kino baakitadde ku bakola enguudo mu district ye Manafa be bagamba nti bakola ebitatukaana na mutindo kubanga ebitundu bino bya nsozi, naye bassaamu bigoma mu ntindo mukifo kyo kuzimba entindo ennene ezisobola okutambuza amazzi amangi.

Related posts

Eyeerangirira ku Tiktok nti y’omu ku bayeekera ba ADF bimusobedde.

OUR REPORTER

Uganda Electoral Commission office ziggaddwa.

OUR REPORTER

Abadde mulwanirizi w’eddembe ow’amazima- Kyagulanyi.

OUR REPORTER

Leave a Comment