14.6 C
Los Angeles
December 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Ambulance yagudde ku kabenje nga eddusa abakyala mudwaliro okuzaala.

Abantu bataano nga basatu ku bano bakyala  abasuliridde okuzaala  bawonye okufiira mu kabenje, ambulance ebadde ebaddusa mu ddwaliro e Kabale  bweremeredde omugoba waayo, ne yerinddigula ekigwo.

Akabenje Kano  kagudde ku kyalo Ntaraga mu gombolola ye Ikumba kubluguudo oluva Kagunga okudda e Kabale.

Mmotoka ya ambulance namba UAL 194JT Land Cruiser nga ya ddwaliro lya Kiizi Health Centre III yeremeredde omugoba waayo, bwebadde eddusa abakyala abagenda okuzaala mu ddwaliro lya Kabale referral Hosiptal.

Abawonye okufa mubaddemu  Busingye Brandina myaka 25yrs nga muzaalisa, Byomugabe Wilson 45yrs abadde omugoba wa ambulance ,Nyinaguhigwa Brandina , Nuwamanya ,Ntegyerezi Veneranda myaka 52, mutuuze ku kyalo Kashasha mugombola ye  kashasha  mu district ye Rubanda.

Omwogezi wa police mu bitundu ebyo Elly Maate asabye abagoba ba ambulance okubeera abegendereza nga bavuga abalwadde, nti kubanga abamu basusse emisinde kwebalina okuddukira.

Related posts

Mbaziira Tonny owa CBS agudde ku kabenje e Masaka.

OUR REPORTER

Dr. Kassim asabye abavunanyizibwa ku by’okwerinda okukomya okutulugunya abasiraamu.

OUR REPORTER

Rev. Luwalira asiimye ebituukiddwaako mu ggwanga mu myaka 6 egy’Ameefuga,.

OUR REPORTER

Leave a Comment