AMERIKA ekutte Misiri n’ebikompola 40,000 by’ebadde etegeka okuwa Putin ayongere okusessebbula Ukraine.
Amawulire ga Washington Post mu Amerika ge gamu ku gaafulumizza ekiwandiiko nnamutaayiika ekyasomoddwa nga kiraga kalonda yenna akwata ku lutalo lwa Ukraine okuva ku ntambuza y’ebyokulwanyisa, entambula y’amagye ga Russia n’ebyokulwanyisa amawanga g’abazungu bye gazze gawa Ukraine.
Mu kiwandiiko ekiraga ebyama ebyekusifu ku ngeri olutalo gye lutambula nga kikyatabudde n’ekitebe ky’eggye lya Amerika ekya Pentagon ku ngeri gye kyafulumiziddwa, kyalaze Misiri bw’ebadde yeefunyiridde ku kuweesa ebikompola 40,000 ebiwe Russia kiyambe Pulezidenti waayo, Vladimir Putin mu lutalo lwe ne Ukraine.
Amerika yennyamidde olw’enkolagana yaayo ebadde teriimu vvuunya ne Misiri nga ne Bapulezidenti b’amawanga gombi owa Misiri, Abdel Fatah El-Sisi ne Joe Biden owa Amerika baasisinkana mu kibuga Cairo omwaka oguwedde ne banyweza enkolagana y’amawanga gaabwe.
Sisi yasabye bannamawulire mu ggwanga lye baleme kusaasaanya mawulire ge bateekakasa kibayambe

obutasajjula nkolagana y’amawanga ago.
Mu kiwandiiko ekigambibwa nti bambega ba Amerika abaketta ebweru w’eggwanga eryo aba CIA kye bagambibwa nti be baakesse ne bakifulumya oba ne bakibasomolako ne kifulumizibwa, Russia eby’okulwanyisa byagikendeddeko nga kati esigazza kusaba banywanyi baayo bagibeererewo.
Misiri ne Russia baludde nga balina enkolagana mu bintu bingi.
Minisita wa Misiri ow’eggwanga avunaanyizibwa ku by’okwerinda, Mohamed Salah al-Din ayogerwako ng’agamba nti eggwanga lye lirina engeri gye lizze likolagana ne Russia nga ke kadde okufuna bwe liriyambako essaawa eno wadde ng’ekika ky’obuyambi takyatuukiriza.
Ekiwandiiko kiriko ennaku z’omwezi 17 February, 2023 nga mu budde we kyafulumiziddwa bwe budde Ukraine ne Russia buli omu we yatandikidde okutegeka okukola ennumba ez’amaanyi ku buli ludda ng’obutiti bukendedde nga bwe kiri kati. Omubaka wa Palamenti ow’essaza ly’e Connecticut mu Amerika ayitibwa Chris Murphy yalabudde eggwanga lye okwegendereza amawanga agamu ge likolagana nago nti gandiba agabaliira munda.
Okusinziira ku mawulire ga Fox News mu Amerika, omwogezi w’akakiiko k’ebyokwerinda, John Kirby bwe yatuukiriddwa bannamawulire okwogera oba ekiwandiiko ekyafulumiziddwa kiriko omutwe n’amagulu yazzeemu nti, ebikirimu si birungi kumala gasaasaanya mu bantu.