Sipiika wa Palamenti Anita Annet Among ayingidde mu nsonga z’okuttibwa kwa Ibrahim Tusubira abadde amanyikiddwa nga Isma Olaxes oba Jajja Ichuli.
Yattiddwa kumpi n’amakaage ku kyalo Kyanja mu Kampala.

Oluvanyuma lwa Olaxes okuttibwa, ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye byasuubiza okunoonyereza, okutuusa nga bazudde omutemu.
Wabula sipiika wa Palamenti Among naye avuddeyo ku nsonga z’okutta Olaxess.

Sipiika Among avumiridde eky’okutta abantu era agamba nti ebikolwa webityo tebirina kifo kyonna wano mu Uganda.
Wakati mu kunoonyereza, sipiika Among awanjagidde ekitongole ekya Poliisi okuzuula abatemu, batwalibwe mu kkooti.