ARSENAL ne ManU zoogezza luggumuggumu nti ka kibe ki oba ki, zaakwesogga oluzannya oluddako mu mpaka za Europa.
Kino kizze oluvannyuma lw’ekibiina ekitwala omupiira mu Bulaaya ekya UEFA okubategeeza nti emipiira gyabwe egy’oluzannya lwa ttiimu 32 mu mpaka za Europa gikyusiddwa.
Ttiimu zombi kati si zaakulyaliza mu maka gaazo olw’obukwakkulizo bwa corona obwassibwa mu Bungereza n’amawanga amalala obutaataaganyizza embeera y’ebyentambula.
UEFA yategeezezza ManU nti omupiira gwayo ogw’oluzannya olusooka mwe banattunkira ne Real Sociedad eya Spain, gwakuzannyirwa mu kibuga Turin ekya Yitale mu kisaawe kya Juventus.
Mu ngeri y’emu, ensiike ya Arsenal ne Benfica eya Portugal, yaakuzannyibwa mu kibuga Rome ekya Yitale mu maka ga Roma.
Mu gw’okudding’ana, Arsenal yaakukyaliza mu kibuga Athens ekya Greece.
Mu ngeri y’emu, ensiike za Champions League wakati wa Liverpool ne RB Leipzig ssaako ogwa Man City ne Monchengladbach nazo zaakukyusibwa.
Wabula omutendesi wa Arsenal, Mikel Arteta agamba nti wadde baakuzannyira ku bugenyi ensiike zombi, tebalina kye bajja kwekwasa era bagenda kulumba emipiira gyombi nga baagala buwanguzi.
Oluzannya olusooka olw’emipiira gino lwakubaawo ku Lwokuna nga February 18.